Kyaddaki Abdallah Kitatta owa Bodaboda 2010 alumiriza omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulemberamu kampeyini okulagira Poliisi okumuwa omusirikale ayinza okumukuuma. Kitatta bwe yabadde mu kkooti y’amaggye e Makindye olunnaku olw’eggulo ku Mmande ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti yategezeza nti bukya azaalibwa, takwatanga ku mmundu. Kitatta agamba nti yatuukirira ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement […]
Kyaddaki Abdallah Kitatta owa Bodaboda 2010 alumiriza omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulemberamu kampeyini okulagira Poliisi okumuwa omusirikale ayinza okumukuuma.
Kitatta bwe yabadde mu kkooti y’amaggye e Makindye olunnaku olw’eggulo ku Mmande ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti yategezeza nti bukya azaalibwa, takwatanga ku mmundu.
Kitatta agamba nti yatuukirira ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga z’ebyokwerinda bye nga ssentebbe wa NRM e Rubaga nga yali atiisibwatisibwa era Pulezidenti Museveni kwekulagira eyali omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura okuweebwa obukuumi.

Mu kkooti, Kitatta yagambye nti Kayihura yamuwa omusirikale Ngobi Sowali ng’omukuumi we era yeyalina emmundu.
Mungeri y’emu agambye nti Gen Kayihura yalagira eyali adduumira Poliisi mu Kampala mu kiseera ekyo, Andrew Felix Kaweesi okumuwa omukuumi ali mu ngoye eza buligyo kuba ye (Kitatta) munnabyabufuzi.
Kitatta yegaanye ebigambibwa nti y’omu ku bamemba b’ekibiina kya Bodaboda 2010.
Kitatta era ayanjulidde mu kkooti abantu 3 okumuwolereza ku misango egimuvunaanibwa omuli omukuumi we Ngobi Sowali, Dereeva we Ibrahim Sekajja ne Fred Bwanika.
Ssentebbe Lt. Gen. Andrew Gutti ayongezaayo omusango ogwo okutuusa nga 21, January, 2019.
Eddoboozi lya Kitatta mu kkooti