Poliisi mu Greater Masaka ekutte abantu 9 mu disitulikiti y’e Sembabule ku by’okubba abantu nga beeyambisa ekimmundu ekijingirire mu ggoombolola y’e Mabindo ne Lugusuulu. Abakwattiddwa kuliko mukama wabwe Augustine Kasoozi, John Matovu Godfrey Matovu, Lawrence Kabuye, Ivan Kutesa, Andrew Kafero, Robert Ssebuma n’abalala. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka Lameck Kigozi, abakwate era […]
Poliisi mu Greater Masaka ekutte abantu 9 mu disitulikiti y’e Sembabule ku by’okubba abantu nga beeyambisa ekimmundu ekijingirire mu ggoombolola y’e Mabindo ne Lugusuulu.
Abakwattiddwa kuliko mukama wabwe Augustine Kasoozi, John Matovu Godfrey Matovu, Lawrence Kabuye, Ivan Kutesa, Andrew Kafero, Robert Ssebuma n’abalala.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka Lameck Kigozi, abakwate era basangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli ebyambe, ebiso, ennyondo, obutayimbwa n’ebintu ebirala.
Kigozi era agambye nti abakwate bakiriza okubba n’okutta omusuubuzi Joseph Uziweye ku kyalo Kakoma mu ggoombolola y’e Mabindo nga 21, November, 2018.
Abakwate baguddwako ogw’obubbi era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.