OMG! Nnalulungi Abenakyo agudde mu bintu, Sipiika Kadaga alangiridde ekiddako mu Palamenti

©GALAXY

Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga asuubiza okuwagira pulani za Quiin Abenakyo eyawangula obwa Nnalulungi bwa Africa n’obwa Uganda. Kadaga agamba nti Quiin Abenakyo ali ku nsonga yenyini, okusomesa abaana okwetangira embuto ku myaka emito n’okubalambika okusigala mu massomero nga basoma, ekigenda okuyamba eggwanga lino era Palamenti egenda kumuyamba nnyo. Sipiika Kadaga bw’abadde asisinkanye Quiin […]


Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga asuubiza okuwagira pulani za Quiin Abenakyo eyawangula obwa Nnalulungi bwa Africa n’obwa Uganda.

Kadaga agamba nti Quiin Abenakyo ali ku nsonga yenyini, okusomesa abaana okwetangira embuto ku myaka emito n’okubalambika okusigala mu massomero nga basoma, ekigenda okuyamba eggwanga lino era Palamenti egenda kumuyamba nnyo.

Sipiika Kadaga bw’abadde asisinkanye Quiin Abenakyo ne ttiimu ye ku Palamenti agambye nti okusomesa abaana ku nsonga ezo, kigenda kuyamba nnyo okukendeza ku baana abawanduka mu masomero olw’okufuna embuto ku myaka emito.

Quiin Abenakyo agamba nti agenda kutambula mu mawanga agenjawulo okutambuza pulani ze kuba alina esuubi okutukiriza ekirooto kye, abaana abawala okusigala mu masomero.