1ShareMu Uganda, abayimbi bangi abasobodde okukola ennyo okukyusa embeera zabwe kyokka omukutu ogwa “South Africa Dialley” gufulumiza olukalala lw’abayimbi abasinga obugagga mu Uganda. Okunoonyereza kwabwe, basinzidde ku bintu ebyenjawulo, omuli amayumba, ettaka, emmotoka omuyimbi gy’avuga n’ebintu ebirala. 10 – Haruna Mubiru. Ssenkulu wa Kream production. bagamba alina ettaka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, emmotoka n’enyumba ezipangisibwa […]
Mu Uganda, abayimbi bangi abasobodde okukola ennyo okukyusa embeera zabwe kyokka omukutu ogwa “South Africa Dialley” gufulumiza olukalala lw’abayimbi abasinga obugagga mu Uganda.
Okunoonyereza kwabwe, basinzidde ku bintu ebyenjawulo, omuli amayumba, ettaka, emmotoka omuyimbi gy’avuga n’ebintu ebirala.
10 – Haruna Mubiru. Ssenkulu wa Kream production. bagamba alina ettaka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, emmotoka n’enyumba ezipangisibwa mu bitundu bye Kabowa.
9 – Eddy Kenzo. Alina amaka e Seguku, Kampala, alina emmotoka ezenjawulo, ettaka mu Kampala, Ambasadda wa Airtel, Ambasadda w’ebyobulambuzi n’emirimu emirala.
8 – Grace Nakimera. Alina ennyumba ezipangisibwa, alima ebintu ebyenjawulo mu bitundu bye Lugazi ne Wakiso.
7 – Geoffrey Lutaya. Ssenkulu wa Da New Eagles Production, alina amaka e Munyonyo, alina Durban Motel, ku luguudo lwe Ntebbe, Angels Castle Motel, ebbaala e Natete, Hotel e Busabala, ettaka n’emmotoka ezenjawulo.
6 – Ronald Mayinja. Alina loole ezitambuza ebyamaguzi, alina Roma Hotel ne Roma Hardware, alina ettaka e Buziga, alina amaka abbiri (2) e Nanganda n’ettaka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
5 – Mesach Semakula. Wa Golden Production, alina ennyumba ezipangisibwa mu bitundu bye Buwaate, Lubowa, Buziga, Zzana ne Bunamwaya, alina Kanno Situdiyo, ettaka e Luweero n’ebitundu ebirala ssaako n’emmotoka ezenjawulo.
4 – Ragge Dee. Y’omu ku bayimbi abaludde ennyo mu kisaawe ky’okuyimba alina emmotoka omuli Hummer, alina Beach mu bitundu bye Busabala, alina emmotoka ez’okupangisa, alina amaka agebeeyi mu bitundu bye Makindye, ettaka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
3 – Bebe Cool. Alina Bandi gy’akozesa mu kuyimba kwe, alina Gagamel recording situdiyo, alina ennyumba ezipangisibwa e Kiwatule ne Bukoto, ettaka e Kiwatule, alina emmotoka ezenjawulo omuli Hammer, alina amaka e Ntinda. Ambasadda wa Uganda Cranes.
2 – Jose Chameleone. Alina amaka e Seguku, alina emmotoka ezenjawulo omuli Escalade, Range Rover, BMW n’endala, alina ennyumba ezipangisibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli Entebbe, alina Coco Beach e Ntebbe, nannyini Leone Island situdiyo.
Mu 2013 yalangirirwa ng’omuyimba namba 6 ku basinga obugagga mu Africa,
1 – Bobi Wine. Alina amaka e Magere ku luguudo lwe Gayaza, alina One Love Beach e Busabala, alina Faamu e Gomba okuli ente, nannyini Firebase Records e Kamwokya, nannyini Ssemakokiro Plaza. Alina bizinensi z’amaato, alina bodaboda, takisi, emmotoka omuli Escalade, Toyota Tundra n’endala.
Omubaka wa Palamenti nga buli mwezi afuna omusaala obukadde obusukka 30 n’emirimu emirala.