AMUKUBYE J! Fik Fameica asigadde mu maziga, Sheilah Gashumba alaze omusajja ali mu birowoozo bye, beeraze amapenzi ku mazzi

©GALAXY

SHEILAH Gashumba muwala wa Frank Gashumba kirabika ennaku zino takyeguya kulumya kitaawe. Gashumba y’omu ku basajja abamanyiddwa mu Uganda okwagala ennyo abaana era y’emu ku nsonga lwaki gye buvuddeko yabonereza muwala we Sheilah kubigambibwa nti yali atandiise okusiwuuka empisa. Gashumba era agamba nti muwala we Sheilah alina okufuna omusajja alina amagezi, ategeera, asobola okulabirira obulungi […]


SHEILAH Gashumba muwala wa Frank Gashumba kirabika ennaku zino takyeguya kulumya kitaawe.

Gashumba y’omu ku basajja abamanyiddwa mu Uganda okwagala ennyo abaana era y’emu ku nsonga lwaki gye buvuddeko yabonereza muwala we Sheilah kubigambibwa nti yali atandiise okusiwuuka empisa.

Gashumba era agamba nti muwala we Sheilah alina okufuna omusajja alina amagezi, ategeera, asobola okulabirira obulungi muwala we.

Bangi ku bannayuganda babadde batambuza ebigambo nti Sheilah n’omuyimbi Fik Fameica baagalana era mbu balabiddwako mu bifo ebyenjawulo nga bateesa ku nsonga z’omukwano gwabwe.

Wadde abantu boogedde ebigambo ebyenjawulo, Sheilah ne Fik tewali yali avuddeyo okwongera ku nsonga eyo.

Wosomera bino, Sheilah asobodde okuteeka ekifaananyi ky’omusajja ku mukutu ogwa Instagram nga beekutte mu kiwato era abamu ku bawagizi be bagambye nti ayinza okuba omu ku basajja abafukirira ekitone kye mu biseera bino.

Sheilah asuubiza omusajja okumubulira gyenvudde w’obulamu bwe “Maybe One day, I shall tell you my story”, ekikakasizza nti Fik takyali mu bulamu bwe.

https://www.instagram.com/p/BslZlMHh6kW/