Poliisi mu Monisipaali y’e Kisoro ekutta abaana 22 nga balenzi abasula ku mbalaza z’ebizimbe mu kibuga. Abakwatiddwa bagiddwa ku mbalaza z’omu kibuga Kisoro, Karumena, Russia ne Muline ekiro ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Mmande. Okusinzira ku bakulembeze, abaana abakwatiddwa bali wakati w’emyaka 8 ne 14. Meeya wa Monisipaali y’e Kisoro Richard Ndyana, agambye nti abaana babadde […]
Poliisi mu Monisipaali y’e Kisoro ekutta abaana 22 nga balenzi abasula ku mbalaza z’ebizimbe mu kibuga.
Abakwatiddwa bagiddwa ku mbalaza z’omu kibuga Kisoro, Karumena, Russia ne Muline ekiro ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
Okusinzira ku bakulembeze, abaana abakwatiddwa bali wakati w’emyaka 8 ne 14.
Meeya wa Monisipaali y’e Kisoro Richard Ndyana, agambye nti abaana babadde batandiise okutabangula emirembe nga benyigira mu bikolobero omuli obubbi n’okunywa ebiragalaragala omuli enjaga.
Adduumira Poliisi y’e Kisoro Charles Okoto, agambye nti abaana abakwatiddwa bagenda kusunsulwamu era abamu bagenda kubazaayo mu bazadde baabwe.