Amatikkira g’e Makerere ag’e 69, Museveni awagidde eky’okugoba abasomesa ababojjerera abayizi olwa makisi

©GALAXY

Ssentebbe w’ekibiina National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asiimye abakulembera yunivaasite y’e Makerere, okulongoosa mu ntambuza y’emirimu. Museveni yaguddewo emikolo gy’amattikira ag’e 69, egy’okumala ennaku 4, asiimye amyuka Chansala Prof. Dr. Barnabas Nawangwe n’olukiiko lwe, okuzaamu abaana empisa, abasomesa n’abakozi bonna abali ku yunivaasite. Mu kwogera kwe, Museveni agamba nti tewali […]


Ssentebbe w’ekibiina National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asiimye abakulembera yunivaasite y’e Makerere, okulongoosa mu ntambuza y’emirimu.

Museveni yaguddewo emikolo gy’amattikira ag’e 69, egy’okumala ennaku 4, asiimye amyuka Chansala Prof. Dr. Barnabas Nawangwe n’olukiiko lwe, okuzaamu abaana empisa, abasomesa n’abakozi bonna abali ku yunivaasite.

Prof. Dr. Barnabas Nawangwe
Prof. Dr. Barnabas Nawangwe

Mu kwogera kwe, Museveni agamba nti tewali ngeri yonna, omusomesa akwattiddwa mu katambi nga yenyigidde mu kuganza abayinza, gy’ayinza okusigala ku yunivaasite, “I want to congratulate Prof. Nawangwe and his team upon being decisive on disciplining students, lecturers and other staff in Makerere. A lecturer caught on camera in immorality and sexually harrassing a student can’t stay in a top university”.

Abamu ku bayizi abatikiddwa
Abamu ku bayizi abatikiddwa

Ate ku baana abatikkiddwa, Museveni abasibiridde entanda, okuba abayiiya nnyo n’okwetandikirawo emirimu.

Emikolo gy’amatikkira gy’akumala ennaku 4, era gya komekerezebwa ku Lwokutaano nga 18, Janwali, 2019 era abayizi 13, 333 bebagenda okutikkirwa.

Galiwango Kasozi Steven
Galiwango Kasozi Steven

Olunnaku olwaleero, omuyizi Galiwango Kasozi Steven okuva mu ‘College of Agricultural & Environmental Sciences’ asiimiddwa olw’okusinga bayizi banne okusoma obulungi era afunye obubonero ky’oyinza okuyita Cumulative Grade Point Average (CGPA) 4.84 ku 5.0.