BITABUSE! Poliisi efulumizza ekiwandiiko ekikambwe ku nnyimba za Bobi Wine, erangiridde okukwata abantu

©GALAXY

Poliisi mu Greater Masaka esambaze ebigambibwa nti yatandiise okulabula abatuuze mu kitundu kyabwe okukomya okukuba ennyimba za Bobi Wine saako n’okutabula mabbaala agenjawulo okukwata ba DJ abakuba ennyimba ze. Amawulire gabadde gayitingana nti Poliisi nga  yegatiddwako ebitongole byokwerinda ebyenjawulo, bakulembeddemu okulemesa ennyimba za Bobi Wine e Masaka era mbu bangi ku ba DJ bakwattiddwa. Wabula […]


Poliisi mu Greater Masaka esambaze ebigambibwa nti yatandiise okulabula abatuuze mu kitundu kyabwe okukomya okukuba ennyimba za Bobi Wine saako n’okutabula mabbaala agenjawulo okukwata ba DJ abakuba ennyimba ze.

Amawulire gabadde gayitingana nti Poliisi nga  yegatiddwako ebitongole byokwerinda ebyenjawulo, bakulembeddemu okulemesa ennyimba za Bobi Wine e Masaka era mbu bangi ku ba DJ bakwattiddwa.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Lameck Kigozi, awakanyiza amawulire agasaasaana era agambye nti byonna bikyamu ddala.

Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwa omukono gwa Lameck, ebigambo ebyo, bigendereddwamu okutatana ekitongole ekya Poliisi era batandiise okunoonyereza abakulembeddemu kampeyini eyo ey’okusiiga Poliisi enziro.