BAMBI! Gavt. eremeddeko Kitatta okuvundira mu kkomera, bambi apondoose ku by’okusangibwa n’emmundu

©GALAXY

Eyali omuyima wa kabinja ka bodaboda 2010 Abdullah Kitatta enkya ya leero akomezebwawo mu kkooti y’amaggye e Makindye mu maaso ga ssentebbe, Lt. Gen. Andrew Gutti okuddamu okwewozaako ku misango egimuvunaanibwa. Kitatta ne banne 9 bagulwako emisango omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka omuli emmundu n’amasasi, okusangibwa n’ebyambalo by’amaggye n’emisango emirala kyokka gyonna bagyegaana. […]


Eyali omuyima wa kabinja ka bodaboda 2010 Abdullah Kitatta enkya ya leero akomezebwawo mu kkooti y’amaggye e Makindye mu maaso ga ssentebbe, Lt. Gen. Andrew Gutti okuddamu okwewozaako ku misango egimuvunaanibwa.

Kitatta ne banne 9 bagulwako emisango omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka omuli emmundu n’amasasi, okusangibwa n’ebyambalo by’amaggye n’emisango emirala kyokka gyonna bagyegaana.

Kitatta ku mulundi ogwasembayo mu kkooti, mu kwewozaako kwe, yategeeza kkooti nti ye, bukya azaalibwa, takwatanga ku mmundu wadde okusangibwa n’ekyambalo ky’amaggye.

Mungeri y’emu yategeeza nti ye ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era mukama we ssentebbe NRM Yoweri Kaguta Museveni yalagira eyali adduumira Poliisi mu ggwanga mu kiseera kyo, Gen Kale Kayihura okutekateeka okufuna omukuumi, ekintu ekyakolebwa, nafuna omusirikale eyalina emmundu n’okwambala engoye za buligyo.

Kitatta era yegaana okuba omuyima w’akabinja ka bodaboda 2010, kwekutegeeza nti byonna ebyogerwa n’emisango egyamugulwako, agamba bamusibako matu ga mbuzi kumulisa ngo.