Kkooti Enkulu mu Kampala eyimirizza okuwuliriza omusango gwa Mathew Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangari abagambibwa okwenyigira mu kutta Keneth Akena lwa kukolobola mmotoka yabwe mwe baali batambulira. Omusango gwo, gubadde gwakutandika okuwulirwa enkya ya leero, kyokka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Fatina Nakafeero lwalemeddwa okuwa bannamateeka b’oludda oluwawabirwa obujjulizi omuli sitetimenti n’ebizibiti bye bagenda okwesigamako […]
Kkooti Enkulu mu Kampala eyimirizza okuwuliriza omusango gwa Mathew Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangari abagambibwa okwenyigira mu kutta Keneth Akena lwa kukolobola mmotoka yabwe mwe baali batambulira.
Omusango gwo, gubadde gwakutandika okuwulirwa enkya ya leero, kyokka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Fatina Nakafeero lwalemeddwa okuwa bannamateeka b’oludda oluwawabirwa obujjulizi omuli sitetimenti n’ebizibiti bye bagenda okwesigamako mu maaso g’omulamuzi Stephen Mubiru nga bewozaako.
Kino kiwaliriza looya wa gavumenti Nakafeero okusaba omulamuzi okumwongera obudde okusobola okutekateeka, okuwa bannamateeka ba Kanyamunyu, ebizibi byonna.
Omulamzi Mubiru yagambye nti abuzaayo wiiki emu yokka okumaliririza emisango egyamuweebwa, okulamula olwo adde e Ntebe gy’alamulira, ng’ayinza obutasobola, kuwuliriza omusango gwa Kanyamunyu.

Mu mbeera eyo, omulamuzi Mubiru ayongezaayo omusango gwo, okutuusa mu ntuula ezinaddako ezitamanyiddwa nnaku za mwezi.
Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari, bavunaanibwa okutta Akena ate muganda wa Kanyamunyu, Joseph Kanyamunyu avunaanibwa omusango gw’okuyambako muganda we okukweka obujulizi, bwe yakweka emmundu ekika kya pisito eyakozesebwa okutta Akena, kyokka emisango gyonna bagyegaana.
Kanyamunyu ne banne bali ku kakalu ka kkooti ka bukadde 10 akabaweebwa nga 10, ogwokuna, 2017 nga kkooti ekkiriza beeyimirirwe.

Kanyamunyu ne banne balina bannamateeka 3 nga bakulembeddwamu Caleb Alaka.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga 12, November, 2016, Kanyamunyu bwe yali ne muganzi we Munwangari mu mmotoka kika kya V8 Land Cruiser Prado nnamba UAW 548W mu bitundu bye Lugogo, Akena yakalabula emmotoka yaabwe.
Mu bukambwe obungi, kigambibwa nti Kanyamunyu yaggyayo Pisito bakuba Akena amasasi mu lubuto n’agwa wansi naye olw’okutya abantu okumuzingako yaddusa Akena mu ddwaaliro lya Norvik, n’ategeeza abasawo nti amuyambye n’amutaasa kyokka Akena bwe yali tannafa n’agamba abasawo, ab’enganda n’ab’emikwano nti Kanyamunyu amuleese mu ddwaaliro y’amukubye amasasi.