BAMBI! Kyaddaki Rema ayatulidde bba Eddy Kenzo ekimukaabya buli lunnaku, mikwano gye gyogedde amazima

©GALAXY

Mu Uganda, Rema Namakula y’omu ku bayimbi abakyala abasiinga okuyimba ku mikolo gy’embaga era afuna ssente mpitirivu nnyo. Abamu ku bannayuganda bagamba nti obuyimba bwe omuli Yo Sweet, Oli Wange, Kaliba, Siri Muyembe n’endala bunyumira nnyo abakyala era y’emu ku nsonga lwaki buli wikendi afuna emikolo. Ku nsonga, bangi babadde bebuuza Rema alina ssente ate […]


Mu Uganda, Rema Namakula y’omu ku bayimbi abakyala abasiinga okuyimba ku mikolo gy’embaga era afuna ssente mpitirivu nnyo.

Abamu ku bannayuganda bagamba nti obuyimba bwe omuli Yo Sweet, Oli Wange, Kaliba, Siri Muyembe n’endala bunyumira nnyo abakyala era y’emu ku nsonga lwaki buli wikendi afuna emikolo.

Ku nsonga, bangi babadde bebuuza Rema alina ssente ate ne bbaawe Eddy Kenzo naye alina ssente, lwaki bakyalemeddwa okwekuba ekiddaala oba wakiri Kenzo okwanjulwa eri abazadde ba Rema.

Rema ne bba Kenzo
Rema ne bba Kenzo

Abamu ku mikwano gya Rema bagamba nti buli mukyala yenna ayagala nnyo ekiddaala era y’emu ku nsonga lwaki Rema ayagala nnyo okuyimba ku mikolo okusobola okusindiika obubaka eri bba Kenzo nti naye yetaaga embaga.

Rema bwe yabadde awayamu naffe sabiti ewedde, yagambye nti, “munsabire nnyo naye ku lwa Katonda, nina esuubi kuba buli mukyala yegoomba nnyo embaga“.

Rema okugamba nti “buli mukyala yegoomba nnyo embaga” kabonero akalaga nti simusanyufu ne bba Kenzo okulwawo okumukuba embaga ate ng’alina obusobozi era kirabika y’emu ku nsonga emukaabya buli lunnaku.