Omuyimbi Fille Mutoni awakanyiza ebyogerwa nti yanywedde enjaga n’ebiragalaragala ebirala era mbu mu kiseera kino ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okwawukana ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats owa NBS. Okuva sabiti ewedde amawulire gabadde gayitingana n’okusingira ddala ku mitimbagano gwa ‘Facebook nti Fille yanywedde ebiragalaragala okweggyako ebirowoozo by’omukwano gwa Mc Kats n’okuyimba. Enkya […]
Omuyimbi Fille Mutoni awakanyiza ebyogerwa nti yanywedde enjaga n’ebiragalaragala ebirala era mbu mu kiseera kino ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okwawukana ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats owa NBS.
Okuva sabiti ewedde amawulire gabadde gayitingana n’okusingira ddala ku mitimbagano gwa ‘Facebook nti Fille yanywedde ebiragalaragala okweggyako ebirowoozo by’omukwano gwa Mc Kats n’okuyimba.

Enkya ya leero, Fille bw’abadde ayogerako ne Dj Nimrod mu pulogulamu Mid Morning Tukoone agambye nti ebyogerwa nti yanywedde ebiragalaragala bigambo by’abantu ate buli muntu alina eddembe okwogera.
Fille agamba nti ye ali mu mbeera nungi nnyo era ali mu kweteekateeka okufulumya ennyimba ze.