Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku by’okubba Number Plate ku mmotooka ne basaba ssente okuva ku bannanyizo mu bitundu bye Ssezibwa. Abakwattiddwa ne baggalirwa ku poliisi kuliko Fred Walukaga omutuuze ku kyalo Wakisi mu ggoombolola y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ne mukwano gwe Kayingo Dankan. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa, […]
Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku by’okubba Number Plate ku mmotooka ne basaba ssente okuva ku bannanyizo mu bitundu bye Ssezibwa.
Abakwattiddwa ne baggalirwa ku poliisi kuliko Fred Walukaga omutuuze ku kyalo Wakisi mu ggoombolola y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ne mukwano gwe Kayingo Dankan.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa, Hellen Butoto abakwatiddwa babadde basaba ssente wakati w’emitwalo 10 kwa 20 era bonna bakirizza omusango.
Butoto agamba nti Walukaga ne munne bakuumibwa ku Poliisi e Lugazi ku misango gy’obubbi ng’okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula abalala omuli Wabwire abekwese.