Eyali ssenkulu w’ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) Jennifer Musisi agudde mu ssente, afunye omulimu mu ggwanga erya America. Okusinzira ku mawulire getufunye, Musisi agenda kuwereza ku Harvard University mu pulogulamu etuumiddwa Bloomberg Harvard City Leadership Initiative era ye mukulembeze asoose okugikulembera. Abakulu ku yunivaasite bagamba nti mukyala Musisi awereddwa omulimu gw’okuwabula (advisory role). […]
Eyali ssenkulu w’ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) Jennifer Musisi agudde mu ssente, afunye omulimu mu ggwanga erya America.
Okusinzira ku mawulire getufunye, Musisi agenda kuwereza ku Harvard University mu pulogulamu etuumiddwa Bloomberg Harvard City Leadership Initiative era ye mukulembeze asoose okugikulembera.
Abakulu ku yunivaasite bagamba nti mukyala Musisi awereddwa omulimu gw’okuwabula (advisory role).
Bloomberg Harvard City Leadership Initiative yatandikibwawo n’ekigendererwa eky’okusomesa abakulembeze mu bibuga engeri gye bayinza okutambuza emirimu n’okubawa ebikozesebwa n’okusingira ddala ba loodi meeya.