KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga alabudde abantu okukomya ogerageranya Gavumenti ya National Resistance Movement (NRM) n’abakulembeze abavaako. Katikkiro Mayiga agamba nti Gavumenti ya Yoweri Kaguta Museveni ekoze bulungi nnyo okusiinga eya Apollo Milton Obote ne Idi Amin Dada. Munnamateeka Mayiga agamba nti “eky’amazima obufuzi bwa NRM businga obwa Obote ne Amin mu bintu ebiwerako, […]
KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga alabudde abantu okukomya ogerageranya Gavumenti ya National Resistance Movement (NRM) n’abakulembeze abavaako.
Katikkiro Mayiga agamba nti Gavumenti ya Yoweri Kaguta Museveni ekoze bulungi nnyo okusiinga eya Apollo Milton Obote ne Idi Amin Dada.
Munnamateeka Mayiga agamba nti “eky’amazima obufuzi bwa NRM businga obwa Obote ne Amin mu bintu ebiwerako, naye ate sirowooza nti waliwo Gavumenti gy’oyinza okugerageranya ku mirembe egyo ogwa Amin ne Obote. Tusaana okwegerageranya ku bantu betwegombo’.

Mukuuma Ddamula Mayiga bw’abadde mu lukiiko lwa Buganda olwa 27 ku Bulange e Mmengo enkya ya leero, agambye nti Uganda erina okwegomba amawanga omuli South Korea, Vietnam, Ghana n’amalala agalina ebintu ebyenjawulo ebisinga eggwanga lyaffe okusiinga Obote ne Amin abalemwa.
Mungeri y’emu anokoddeyo ebintu ebyenjawulo ebikyalemye Gavumenti ya NRM omuli okulwanyisa obwavu, okutumbula ebyobulamu, ebyenjigiriza, okutumbula eddembe ly’obuntu n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu ggwanga n’ensonga endala.