Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda n’okwesiga ebitongole ebikuuma eddembe. Museveni agamba nti mu Africa, Uganda y’emu ku nsi ezitebenkedde nga tetwetaaga kibiina ky’amawanga amagate ekya United Nations (UN) ku nsonga y’ebyokwerinda nga bwe guli mu South Sudan, Dr Congo, Nigeria n’amawanga […]
Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda n’okwesiga ebitongole ebikuuma eddembe.
Museveni agamba nti mu Africa, Uganda y’emu ku nsi ezitebenkedde nga tetwetaaga kibiina ky’amawanga amagate ekya United Nations (UN) ku nsonga y’ebyokwerinda nga bwe guli mu South Sudan, Dr Congo, Nigeria n’amawanga amalala.
Bw’abadde aggulawo olukungaana lw’abalamuzi mu Serena Hotel, agambye nti Gavumenti ye n’ebitongole ebikuuma ddembe, basobodde okulwanyisa obutujju nga tebayambiddwako UN ekiraga nti Uganda erina obusobozi ku nsonga y’ebyokwerinda.
Museveni asuubiza okulwanyisa ebikolobero omuli obutemu mu bibuga n’okusingira ddala mu Kampala.
Ate Ssabalamuzi Bart Katureebe alopodde Pulezidenti Museveni okusomozebwa kwebayitamu omuli abalamuzi abatono, ssente obutamala ebiviriddeko emisango okwetuuma mu kkooti.