BAWEDDE! Obubbi mu Kampala ku bitaala, Poliisi ekutte 8 babitebye

©GALAXY

Poliisi ekutte abantu munaana (8) ku by’okutigomya abantu mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Abakwattiddwa bakuumibwa ku  Kiira Road Police station ku misango gy’obubbi. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Poliisi yakoze ekikwekwweeto oluvanyuma lwa babbi, okulumbagana omusajja atamanyikiddwa bimukwatako ku bitaala bye Lugogo bypass ne baasa endabirwamu y’emmotoka ne batwala ebintu bye […]


Poliisi ekutte abantu munaana (8) ku by’okutigomya abantu mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Abakwattiddwa bakuumibwa ku  Kiira Road Police station ku misango gy’obubbi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Poliisi yakoze ekikwekwweeto oluvanyuma lwa babbi, okulumbagana omusajja atamanyikiddwa bimukwatako ku bitaala bye Lugogo bypass ne baasa endabirwamu y’emmotoka ne batwala ebintu bye n’okumukuba.

Enanga agamba nti abantu abakwatiddwa bagenda kuyambako Poliisi okunoonyereza abatigomya Kampala era Poliisi atandiise okunoonya omusajja eyakubiddwa.

Omusajja eyakubiddwa