Tamale Mirundi alabudde omugagga Ssaabavulu Balaam Barugahare okukula mu birowoozo n’okwewala ebintu ebiswaza ekitiibwa kye. Amawulire gatandiise okuyitingana nti Balaam yawandisiza ekigambo ‘People Power’ era tewali muntu yenna alina lukusa okuddamu okukikozesa mu ggwanga lino. Balaam agamba nti Bobi Wine ne banne balemeddwa okuwandiisa People Power ekiraga nti ye okugiwandiisa talina nsobi gye yakoze kuba […]
Tamale Mirundi alabudde omugagga Ssaabavulu Balaam Barugahare okukula mu birowoozo n’okwewala ebintu ebiswaza ekitiibwa kye.
Amawulire gatandiise okuyitingana nti Balaam yawandisiza ekigambo ‘People Power’ era tewali muntu yenna alina lukusa okuddamu okukikozesa mu ggwanga lino.

Balaam agamba nti Bobi Wine ne banne balemeddwa okuwandiisa People Power ekiraga nti ye okugiwandiisa talina nsobi gye yakoze kuba kigenda kumuyamba mu kutambuza emirimu.
Wabula enkya ya leero, Mirundi bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu “ONE one ONE with Tamale Mirundi”, bwabuziddwa ku nsonga ya Balaam okuwandiisa People Power agambye nti, ” Ekyo kyabusiru nnyo, mbadde Balaam nkubalamu amagezi naye ogudde, okuwandiisa People Power Bobi Wine omutwalako ki?. Mukomye okukola ebintu ebibaswaza.”.