EKITONGOLE kya Uganda National Examinations Board (UNEB) ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga kirangiridde olunnaku olw’enkya ku Lwokuna okufulumya ebigezo bya S4 ebyakolebwa omwaka oguwedde ogwa 2018. Ku mulundi gunno, bakozeemu enkyukakyuka nga ebigezo byakufulumizibwa ku ssaawa 8:30 ezakawungeezi, obutafananako nga bwegubadde emyaka egiyise, ebigezo okufulumizibwa ku ssaawa 10:30 ez’okumakya. Okusinzira kw’amyuka akwasaganya eby’amawulire mu kitongole […]
EKITONGOLE kya Uganda National Examinations Board (UNEB) ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga kirangiridde olunnaku olw’enkya ku Lwokuna okufulumya ebigezo bya S4 ebyakolebwa omwaka oguwedde ogwa 2018.
Ku mulundi gunno, bakozeemu enkyukakyuka nga ebigezo byakufulumizibwa ku ssaawa 8:30 ezakawungeezi, obutafananako nga bwegubadde emyaka egiyise, ebigezo okufulumizibwa ku ssaawa 10:30 ez’okumakya.
Okusinzira kw’amyuka akwasaganya eby’amawulire mu kitongole kya UNEB, Patrick Muinda, minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo mu ggwanga Janet Kataha Museveni agenda kulemberamu emikolo gy’okufulumya ebigezo.
Abayizi, 336,740 okuva mu masomero 3,658 mu Uganda yonna baatudde ebigezo bino wakati wa October 15 ne November 16, 2018.
Ku bayizi abo, 152,296 babadde basomera bwereere mu nkola ya gavumenti eya USE ate abasigadde 184,444 babadde mu masomero ag’obwannannyini.
Ku bayizi 336,740 abaatudde ebya S.4, abalenzi baasinze abawala obungi nga baabadde 169,984 so nga abawala baabadde 166,756.