Poliisi ekutte 2 ku by’okubba ebintu mu Kampala, bagaliddwa ku CPS

©GALAXY

Poliisi ekutte abantu 2 abateberezebwa okwenyigira mu kubba waaya z’amasanyalaze mu Kampala. Abakwattiddwa bagiddwa ku Old Kampala ne Sentema Road era basangiddwa ne waaya mu mmotooka yabwe. Abakwate kuliko Ssemanda Amir ne Kabonge Julius era bakuumibwa ku CPS mu Kampala ku misango gy’obubbi. Poliisi ekowoodde omuntu yenna oba Kampuni eyabuliddwako ebintu bye, okuddukira ku CPS […]


Poliisi ekutte abantu 2 abateberezebwa okwenyigira mu kubba waaya z’amasanyalaze mu Kampala.

Abakwattiddwa bagiddwa ku Old Kampala ne Sentema Road era basangiddwa ne waaya mu mmotooka yabwe.

Abakwate kuliko Ssemanda Amir ne Kabonge Julius era bakuumibwa ku CPS mu Kampala ku misango gy’obubbi.

Poliisi ekowoodde omuntu yenna oba Kampuni eyabuliddwako ebintu bye, okuddukira ku CPS mu Kampala okutwala obujjulizi.