NJAGALA ZAANGE! IGP Martin Okoth Ochola bimutabukidde, atwaliddwa mu kkooti enkulu abitebye

©GALAXY

Kkooti enkulu mu Kampala eyise omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola okwenyonyolako lwaki ekitongole kya Poliisi kiremeddwa okuliyirira munnamawulire Gideon Tugume ssente ze obukadde 49. Ochola okuyitibwa kidiridde Tugume okuddayo mu kkooti okuloopa Poliisi nga bwegaanye okussa ekitiibwa mu ndagaano gye baakolera mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu gye baakola nga July 25, 2017 bwe […]


Kkooti enkulu mu Kampala eyise omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola okwenyonyolako lwaki ekitongole kya Poliisi kiremeddwa okuliyirira munnamawulire Gideon Tugume ssente ze obukadde 49.

Ochola okuyitibwa kidiridde Tugume okuddayo mu kkooti okuloopa Poliisi nga bwegaanye okussa ekitiibwa mu ndagaano gye baakolera mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu gye baakola nga July 25, 2017 bwe beeyama okumuliyirira obukadde 49.

Munnamawulire Tugume agamba nti yakubwa essasi mu kagulu mu biseera bya ‘walk to work’ n’aloopa poliisi mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu era ne beeyama okumuliyirira obukadde 49 naye kati myaka 3 tebamusasulanga.

Agamba nti yakosebwa era mu kiseera kino tasobola kukola mulimu gwonna.

Mu kkooti, Ochola ayitiddwa wamu n’akulira embeera za bakozi mu poliisi Erasmus n’omuwandiisi wa poliisi Rogers Muhirwa nga balagiddwa okwewozaako mu nnaku 15 okuva olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu nga 30, Janwali, 2019.