Poliisi y’e Bulenga ekutte omusajja ku by’okuwaamba n’okutta omwana Elvis Kibuule myaka 4. Deo Mukisa omutuuze ku kyalo Kireka Bbira mu muluka gw’e Nakabugo mu disitulikiti y’e Wakiso yakwattiddwa ku by’okutta Kibuule eyawambibwa nga 24, Janwali, 2019. Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omulambo gw’omwana gwazuuliddwa nga 30, Janwali, 2019 nga […]
Poliisi y’e Bulenga ekutte omusajja ku by’okuwaamba n’okutta omwana Elvis Kibuule myaka 4.
Deo Mukisa omutuuze ku kyalo Kireka Bbira mu muluka gw’e Nakabugo mu disitulikiti y’e Wakiso yakwattiddwa ku by’okutta Kibuule eyawambibwa nga 24, Janwali, 2019.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omulambo gw’omwana gwazuuliddwa nga 30, Janwali, 2019 nga gusuliddwa mu kisenyi mu bitundu bye Kireka Bbira era gwatwaliddwa eddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Omusajja Mukisa mu kwatibwa Poliisi era asobodde okutegeeza nti alina omukyala omulala eyali muganzi we gwe yatta kyokka akyagaanye okutegeeza Poliisi gye yaziikibwa.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku nsonga eyo.