KITALO! Abantu bafiiridde mu kabenje ku lwe Kampala – Jinja, abataawa bali mu maziga

©GALAXY

Abantu bana (4) bafiiridde mu kabenje ddekabusa mu kibira Mabira ku luguudo lwa Kampala – Jinja. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sezibwa Hellen Butoto, emotooka ekika kya Kosita namba UBD 343P ebadde eva e Kampala okudda e Jinja bw’ebadde egezaako okuyisiza mu koona lye Sanga neyingirira tuleera namba T643DNU/T8441DND ebadde eva e […]


Abantu bana (4) bafiiridde mu kabenje ddekabusa mu kibira Mabira ku luguudo lwa Kampala – Jinja.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sezibwa Hellen Butoto, emotooka ekika kya Kosita namba UBD 343P ebadde eva e Kampala okudda e Jinja bw’ebadde egezaako okuyisiza mu koona lye Sanga neyingirira tuleera namba T643DNU/T8441DND ebadde eva e Jinja okudda mu Kampala era abantu 4 bafiiriddewo.

Ku bafudde omu yekka ategerekeseko nga  Matampa Andrew abadde omusirikale ku Poliisi y’e Katwe.

Butoto era agambye nti abantu 13 bafunye ebisago era batwaliddwa mu ddwaaliro e Jinja okufuna obujanjabi.