ENTIISA! Omusawo w’ekinnansi akwattiddwa ku by’okusaddaka abantu, omulambo gusangiddwa mu ssabo

©GALAXY

Poliisi y’e Luweero ekutte abantu 2 ku by’okutta abantu mu ngeri y’okubasaddaaka. Abakwattiddwa ne baggalirwa kuliko omusawo w’ekinnansi Armstrong Nsubuga omutuuze ku kyalo Kyakatula mu ggombolola y’e Kikyusa n’omuyambi we Sozi Kalyowa. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah, Paul Kangave basobodde okuzuula omulambo gw’omuntu mu ssabo lya Nsubuga n’ekinya okumpi ne ssabo […]


Poliisi y’e Luweero ekutte abantu 2 ku by’okutta abantu mu ngeri y’okubasaddaaka.

Abakwattiddwa ne baggalirwa kuliko omusawo w’ekinnansi Armstrong Nsubuga omutuuze ku kyalo Kyakatula mu ggombolola y’e Kikyusa n’omuyambi we Sozi Kalyowa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah, Paul Kangave basobodde okuzuula omulambo gw’omuntu mu ssabo lya Nsubuga n’ekinya okumpi ne ssabo omusangiddwa amagumba g’abantu.

Kangave agamba nti, ekikwekweeto kyakoleddwa oluvanyuma lwa batuuze okwemulugunya ku mutuuze nti munaabwe Moses Busobozi yabuziddwawo era kiteeberezebwa nti yattiddwa abasawo b’ekinnansi.

Abakwate omuli Nsubuga ne Kalyowa bakuumibwa ku Central Police Station (CPS) y’e Luweero era Kangave agambye nti omusawo w’ekinnansi Nsubuga akirizza okwenyigira mu kusaddaka abantu.

Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Eddoboozi lya Kangave