Akaboozi y’emu ku mpagi eyimirizaawo obufumbo n’okuwangaza essannyu mu baagalana. Omuntu yenna wadde alina ssente, alina okuwa muganzi we obudde okwesanyusa mu kaboozi. Abakugu mu nsonga z’omukwano bagamba nti omuntu yenna ng’alina ebirowoozo, tasobola kusanyusa munne bulungi ku nsonga z’omu kisenge okumutuusa ku ntikko era embeera eyo, eyinza okuvirako omusajja oba omukyala okukyankalana kuba asigala […]
Akaboozi y’emu ku mpagi eyimirizaawo obufumbo n’okuwangaza essannyu mu baagalana.
Omuntu yenna wadde alina ssente, alina okuwa muganzi we obudde okwesanyusa mu kaboozi.
Abakugu mu nsonga z’omukwano bagamba nti omuntu yenna ng’alina ebirowoozo, tasobola kusanyusa munne bulungi ku nsonga z’omu kisenge okumutuusa ku ntikko era embeera eyo, eyinza okuvirako omusajja oba omukyala okukyankalana kuba asigala tafuna ssannyu mu kisenge.
Ku nsonga ezo, okuva sabiti ewedde, ebigambo bibadde biyitingana mu bantu nti omuwala Eve Patricia yavudde ewa MC Kats nga kivudde ku nsonga z’omuyimbi Fille Mutoni.
Abali ku lusegere lwa MC Kats bagamba nti alemeddwa okwerabira Fille mu birowoozo bye wadde baayawukana era buli ssaawa amwogerako, ekintu ekyanyiziza ennyo omuwala Patricia.
Patricia mbu yanyiize olwa MC Kats okwogera ennyo ku Fille era mbu y’emu ku nsonga lwaki ewa MC Kats yavuddeyo kuba abadde alemeddwa okukola obulungi bwekituuka ku nsonga z’omu kisenge.
MC Kats kirabika alina ebirowoozo era ng’omusajja tasobola kukola bulungi ku nsonga z’omu kisenge era eyinza okuba emu ku nsonga lwaki Patricia yemulugunya kuba tanaba kumatira waaya ya MC Kats, ensonga enkulu eyamuleeta.
Wabula ne Fille agamba nti tayinza kwerabira MC Kats wadde bafunye obutakwatagana kuba ye taata w’omwana we, yamuggya mu kyalo, bavudde wala naye, asobodde okumutunda mu kisaawe ky’okuyimba era balina okutuula bombi okunoonya amagezi engeri gye bayinza okusigala nga bakwatagana.