NKWATEKO! DJ Nimrod ayiise enduusu, kyanakiwala ekyamyuka kimulazeeko bwefanana nawuunga ku Singles Emergency Room

©GALAXY

Byanabiwala biraze emibiri mu kirabu Amnesia mu kivvulu kya “Dj Nimrod’s Naughty Singles Emergency Room” ekitegekebwa DJ Nimrod owa 100.2 Galaxy FM omuwereza wa Mid Morning Tukoone okuva ku Mmande okutuusa ku lwokutaano okuva ku ssaawa 4 – 9 ez’olw’eggulo. Ekivvulu kyabadde ku kirabu Amnesia ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero era abadigize bavudde mu bitundu […]


Byanabiwala biraze emibiri mu kirabu Amnesia mu kivvulu kya “Dj Nimrod’s Naughty Singles Emergency Room” ekitegekebwa DJ Nimrod owa 100.2 Galaxy FM omuwereza wa Mid Morning Tukoone okuva ku Mmande okutuusa ku lwokutaano okuva ku ssaawa 4 – 9 ez’olw’eggulo.

Ekivvulu kyabadde ku kirabu Amnesia ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero era abadigize bavudde mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo okulaga eswagga mu nyambala yabwe.

Ekivvulu ekya Naughty Singles Emergency Room kitegekebwa buli mwaka era abadigize abamu bambala ng’abasawo, abalala ng’abalwadde n’okwambala obugoye okusoomooza abasajja.