BITABUSE! Pulezidenti Museveni gwe osigadde okunyamba kuba mpulira mbikooye, Maama w’omugenzi Radio addukidde mu State House

©GALAXY

Nnyina w’omugenzi Mowzey Radio awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayingira mu nsonga ze, omusajja eyakwatibwa ku by’okutibwa kwa mutabani we Godfrey Wamala amanyikiddwa nga Troy, afune obwenkanya mateeka ssaako ne famire y’omugenzi. Maama Kasuubo Jane agamba nti Troy bukya asindikibwa mu kkooti enkulu okuva mu kkooti esookerwako Entebbe omwaka oguwedde ogwa 2018, omusango […]


Nnyina w’omugenzi Mowzey Radio awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayingira mu nsonga ze, omusajja eyakwatibwa ku by’okutibwa kwa mutabani we Godfrey Wamala amanyikiddwa nga Troy, afune obwenkanya mateeka ssaako ne famire y’omugenzi.

Maama Kasuubo Jane agamba nti Troy bukya asindikibwa mu kkooti enkulu okuva mu kkooti esookerwako Entebbe omwaka oguwedde ogwa 2018, omusango gwe teguwulirwanga, ekirese famire y’omugenzi nga basobeddwa ku kitongole ekiramuzi.

Omugenzi Radio
Omugenzi Radio

Asabye omukulembeze w’eggwanga Museveni okuyingira mu nsonga eyo, omusango gwa mutabani we okuwulirwa, basobole okufuna amazima n’obwenkanya.

Wabula Solomon Muyita akulira ebyamawulire mu kitongole ekiramuzi agambye nti balina emisango emikadde egirudde mu kkooti, egirina okusooka omusango gw’omugenzi Radio

Vidiyo ya Luzze Andrew