ONO AVULUGA! Bebe Cool atabukidde abawagizi ba People Power mu lwatu, ayogedde amazima, abamu abalangidde ebiswaza

©GALAXY

Omuyimbi Bebe Cool atabukidde omugoberezi we ku mukutu ogwa Face Book ku nsonga y’okuwerera abaana abawala mu ggwanga lino. Bebe asobodde okweyambisa Face Book okulaga omuwala Fortunate okuva mu bitundu bye Tororo eyafunye obubonero 4 mu Primary Leaving Exams (PLE) ku Nagongera Girls School. Ku nsonga eyo, Bebe Cool yeyamye okuyamba omuwala ku ‘School Fees’ […]


Omuyimbi Bebe Cool atabukidde omugoberezi we ku mukutu ogwa Face Book ku nsonga y’okuwerera abaana abawala mu ggwanga lino.

Bebe asobodde okweyambisa Face Book okulaga omuwala Fortunate okuva mu bitundu bye Tororo eyafunye obubonero 4 mu Primary Leaving Exams (PLE) ku Nagongera Girls School.

Ku nsonga eyo, Bebe Cool yeyamye okuyamba omuwala ku ‘School Fees’ era nakubirizza abazadde okusomesa abaana abawala wabula omu ku mugoberezi we Solomon Kyambadde yewuunyiza Bebe Cool okusuubiza okuwa omwana School Fees nga Gavumenti ya NRM erina enkola ya bonna basome.

Kyambadde agamba nti ebigambo bya Bebe Cool biraga nti naye takiririza mu nkola ya bonna basome kuba abadde alina kugula bitabo n’engato, omwana okudda ku ssomero.

Ebigambo bya Kyambadde, Bebe Cool amwanukudde mu bwangu era agambye nti, ” Solomon kati ate enyindo gyokozeseza okulowoza? Katonda alabye n’ebitonde bye“.

Ate eri abawagizi b’ekisinde kya People Power, ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentemu amanyikiddwa nga Bobi Wine, Bebe Cool ayogedde amazima.

Enkola ya Bebe Cool okuyamba abantu abenjawulo, abamu ku bannayuganda basiima enkola ze.