Abamu ku bannayuganda bakubye ebituli mu bigambo bya Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi ku nsonga z’abantu abatuufu abalina okutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga lino. Omwaka oguwedde ogwa 2018, Minisita Kiwanda yalangirira omukyala Zari Hassan nga Ambasadda w’ebyobulambuzi era yamutambuza mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ebisangibwamu ebyobulambuzi omuli ebisolo. Nga tumalako omwaka, Minisita Kiwanda, yaddamu okulangirira Quiin […]
Abamu ku bannayuganda bakubye ebituli mu bigambo bya Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi ku nsonga z’abantu abatuufu abalina okutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga lino.
Omwaka oguwedde ogwa 2018, Minisita Kiwanda yalangirira omukyala Zari Hassan nga Ambasadda w’ebyobulambuzi era yamutambuza mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ebisangibwamu ebyobulambuzi omuli ebisolo.

Nga tumalako omwaka, Minisita Kiwanda, yaddamu okulangirira Quiin Abenakyo nga Ambasadda omulala mu kutumbula ebyobulambuzi oluvanyuma lw’okuwangula obwa Nalulungi wa Afrika ku mikolo egyali mu ggwanga erya China.
Abamu ku bannayuganda batandikirawo okugamba nti Zari agiddwako obwa Ambasadda kuba Minisita Kiwanda yali afunye Abenakyo. Ku nsonga eyo, Kiwanda yavaayo nategeeza nti Uganda yetaaga abantu abenjawulo mu kutumbula ebyobulambuzi era Zari bakyamwetaaga kuba alina abantu bangi nnyo ku ku mitimbagano egitali gimu abamugoberera.

Olunnaku olw’eggulo, abamu ku bannayuganda basobeddwa olwa Minisita Kiwanda okusindiika Mwana muwala Anita Fabiola okulemberamu kampeyini y’okutumbula ebyobulambuzi mu bitundu by’ebuvanjuba bwa Uganda okumala ennaku 4.

Embeera eyo, yaviriddeko bangi ku bannayuganda okuddamu okulowooza nti Abenakyo asuuliddwa era asikiziddwa Fabiola mu kutunda Uganda mu byobulambuzi.
Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Minisita Kiwanda yavuddeyo ku nsonga z’okusindiika Fabiola mu bitundu by’ebuvanjuba. Kiwanda yazeemu okukatiriza nti Uganda yetaaga abantu abenjawulo okutumbula ebyobulambuzi. Agamba nti yategezeddwa okuva mu kibiina ekitwala bannalulungi mu Uganda ekya Miss Uganda Foundation nti Abenakyo mugonvugonvu nga tasobola kugenda mu bitundu by’ebuvanjuba bwa Uganda kuba tali mu mbeera nungi.

Ekisinze okutabula bannayuganda, Minisita Kiwanda kwekutegeeza nti Abenakyo mugonvugonvu kyokka olunnaku olw’eggulo yabadde ne sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga mu bitundu bye Busoga, okulambula amassomero agenjawulo omuli Star Light Primary School n’okuzaamu abayizi esuubi okwekumira mu massomero.
Bannayuganda abamu bagamba nti Abenakyo yasabye Minisita Kiwanda ssente mpitirivu okutumbula ebyobulambuzi era mbu y’emu ku nsonga lwaki yasuuliddwa. Abalala bagamba nti Minisita Kiwanda ayagala nnyo abakyala abanyirira era mu mbeera eyo kyamuwaliriza okusembeza Zari ne Fabiola yamusembezza.