Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 5, Febwali, 2019, ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yakyaliddeko Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu Lubiri e Banda mu disitulikiti y’e Wakiso. Mu nsinsinkano eyakulungudde essaawa satu (3) Pulezidenti Museveni yasuubiza ebintu ebyenjawulo, ebyawadde Obwakabaka bwa Buganda n’abaganda essannyu era […]
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 5, Febwali, 2019, ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yakyaliddeko Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu Lubiri e Banda mu disitulikiti y’e Wakiso.
Mu nsinsinkano eyakulungudde essaawa satu (3) Pulezidenti Museveni yasuubiza ebintu ebyenjawulo, ebyawadde Obwakabaka bwa Buganda n’abaganda essannyu era bangi bakiriza nti Museveni yagwanidde okulembera eggwanga lino.
Museveni yasuubiza nti Gavumenti egenda kusasula ezimu ku nsimbi ezibanjibwa mu busuulu ku ttaka lya Buganda okuli ekkomera ly’e Kigo ne Barracks y’amagye e Makindye n’okusasula ezimu ku ssente ezibanjibwa mu bitundu ebyenjawulo n’okutandiika mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2019 – 2020.
Mungeri y’emu yalagidde Obuganda okudizibwa ebyapa byonna ebyali byatwalibwa ku mirembe emikadde.

Mu mbeera eyo, abatunulizi b’ebyobufuzi bagamba nti Pulezidenti Museveni ye musajja asinga mu Uganda okuzannya ebyobufuzi mu ngeri ezenjawulo.
Bagamba nti bangi ku Baganda babadde banyivu nnyo olwa Gavumenti ya Pulezidenti Museveni okulemwa okusasula Obuganda ssente ezibangibwa, okomyawo ebyapa by’ettaka n’ensonga endala.
Abatunulizi b’ensonga bagamba nti Museveni okukyalira Kabaka n’okusuubiza ebintu ebyenjawulo, kyongedde okukomyawo obuwagizi bwe eri Obuganda n’abamu ku balonzi abakiririza mu kabaka wabwe.
Mungeri y’emu bagamba nti, Obuganda okwagala okukomyawo ebintu byabwe n’okukuuma enkolagana ne Gavumenti, kyongedde okunafuwa abantu bonna omuli n’abaganda abagala okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021.
Ku nsonga eyo, banokoddeyo omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine nti mu kiseera kino kiyinza okuba ekizibu abantu abakulu mu Buganda okumuwagira ku bwa Pulezidenti mu 2021 singa yesimbawo kuba Kabaka ne Museveni okusisinkana mu kiseera kino, kabonero akalaga nti tewali ayinza kubawula ku nsonga yonna.
Ate waliwo abagambye nti Museveni okukyalira Kabaka, yasindikidde abamuvuganya obubaka obukambwe omuli ne Bobi Wine nti mu Buganda akyalinawo obuwagizi kuba Kabaka kyayogera tewali muntu yenna ayinza kumuddamu.