TUBIKOOYE! Nnnalulungi Quiin Abenakyo yatikkirwa mu bukyamu, abayizi b’e Makerere baleese bwiino, baagala Diguli esazibwemu

©GALAXY

Abamu ku bayizi ku yunivaasite y’e Makerere bawandiikidde ekitongole kya poliisi ekikulira okunoonyereza ku misango mu ggwanga okunoonyereza ku diguli eyaweebwa Nalulungi wa Afrika, Quiin Abenakyo omwezi oguwedde ogwa Janwali ku Matikkira ag’e 69. Abayizi abeegattira mu kibiina kyabwe ekya ‘MUFSSA’ omwegattira abayizi abaali bagobeddwaako mu ttendekero lino, wadde nga baamala ne bejjeerezebwa, balumiriza nti […]


Abamu ku bayizi ku yunivaasite y’e Makerere bawandiikidde ekitongole kya poliisi ekikulira okunoonyereza ku misango mu ggwanga okunoonyereza ku diguli eyaweebwa Nalulungi wa Afrika, Quiin Abenakyo omwezi oguwedde ogwa Janwali ku Matikkira ag’e 69.

Abayizi abeegattira mu kibiina kyabwe ekya ‘MUFSSA’ omwegattira abayizi abaali bagobeddwaako mu ttendekero lino, wadde nga baamala ne bejjeerezebwa, balumiriza nti diguli eyaweebwa Abenakyo, si ntuufu.

Abayizi nga bakulembeddwamu David Musiri, bagamba nti okusinziira ku kunoonyereza kwabwe ng’abayizi, Abenakyo yaweebwa diguli mu bukyamu kubanga alina amasomo ge yali yagwa mu mwaka gwe ogwokubiri nga yalina okugaddamu kiyite ‘RETAKE’ ekitakolebwa.

Quiin Abenakyo n'amyuka chansala Prof. Barnabas Nawangwe
Quiin Abenakyo n’amyuka chansala Prof. Barnabas Nawangwe

Musiri ne banne mu kwogerako eri bannamawulire mu Kampala, balaze ebiwandiiko eby’enjawulo Abenakyo bye yawandiikira akulira ettendekero ly’ebyobusuubuzi erya Makerere University Business School ng’asaba aweebwe omukisa atuule ebibuuzo bye yali yagwa, ekyennaku, okusaba kwe yakukola kikeerezi nga wabulayo ennaku bbiri zokka okutikkira abayizi era wano we baasinzidde ne bagamba nti mu buli ngeri Abenakyo talina ngeri gy’ayinza kubeera nti yasobola okutuula ebibuuzo bino era kiraga nti yatikkirwa talina makisi mu bigezo ebimu.

Ku nsonga eyo, akulira byamawulire ku yunivaasite y’e Makerere Dr. Muhammad Kiggundu agambye nti betegese okunoonyereza singa bafuna okwemulugunya okuva eri omuyizi yenna.