Mukyala wa Diamond Platnumz omuggya, Tanasha Donna Oketch okuva mu ggwanga erya Kenya avuddemu omwasi ku abantu abayingirira emirembe gye. Olunnaku olw’eggulo, eyali mukyala wa Platnumz Zari Hassan yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza nti abakyala abamu banoonya abasajja okufumbirwa olwa ssente n’ebyobugagga byabwe kyokka ye alina okuba omukyala omugagga, “While you are looking for […]
Mukyala wa Diamond Platnumz omuggya, Tanasha Donna Oketch okuva mu ggwanga erya Kenya avuddemu omwasi ku abantu abayingirira emirembe gye.
Olunnaku olw’eggulo, eyali mukyala wa Platnumz Zari Hassan yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza nti abakyala abamu banoonya abasajja okufumbirwa olwa ssente n’ebyobugagga byabwe kyokka ye alina okuba omukyala omugagga, “While you are looking for rich husbands, i wana be the rich wife”.
Ebigambo bye, abamu ku bagoberezi be bagambye nti abadde abusindikira muggya we Tanasha Donna Oketch.
Embeera eyo, n’omukyala Tanasha naye asobodde okweyambisa omukutu gwe gumu ogwa Instagram era agambye nti akizudde nti okuwanyisiganya ebigambo n’omusiru, kimufuula musiru era alina okukyesonyiwa, “I’ve come to realize that when you argue with an idiot you become one too , so i’ma leave them alone on that one“.
Mu mbeera y’emu era abamu ku bantu bagambye nti obubaka obwo, abadde abusindikira Zari mu ngeri y’okumwanukula.
https://www.instagram.com/p/BteO__1Bxqa/