Oluvanyuma lw’omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania okufuna omukyala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch, Zari Hassan yafuna obuggya kuba ayinza okuba yalina essuubi okudingana ne bba. Zari ne Tanasha baludde nga bawanyisiganya ebigambo nga buli omu alumba munne kyokka ekyembi ensonga zabwe bazitambuliza ku mitimbagano gya Instagram, ekintu ekiswaza. Olunnaku Olwokusatu, Zari […]
Oluvanyuma lw’omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania okufuna omukyala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch, Zari Hassan yafuna obuggya kuba ayinza okuba yalina essuubi okudingana ne bba.
Zari ne Tanasha baludde nga bawanyisiganya ebigambo nga buli omu alumba munne kyokka ekyembi ensonga zabwe bazitambuliza ku mitimbagano gya Instagram, ekintu ekiswaza.
Olunnaku Olwokusatu, Zari yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza nti abakyala abamu banoonya abasajja okufumbirwa olwa ssente n’ebyobugagga byabwe kyokka ye alina okuba omukyala omugagga, “While you are looking for rich husbands, i wana be the rich wife”.
Ate olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Tanasha naye yasobodde okweyambisa omukutu gwe gumu ogwa Instagram era agambye nti akizudde nti okuwanyisiganya ebigambo n’omusiru, kimufuula musiru era alina okukyesonyiwa, “I’ve come to realize that when you argue with an idiot you become one too , so i’ma leave them alone on that one“.
Olunnaku olwaleero, Tanasha azzeemu okusindikira Zari okulabula.
Tanasha agambye nti olina okukola ebintu by’osomesa oba eby’okusomesa byesonyiwe, abantu balaba ebyo byokola okusinga byoyogera, “Practice what you preach or don’t preach at all. Walk the talk. People watch what you do more than they listen to what you say“.
https://www.instagram.com/p/BtmCPx1hIld/