Ebipya byongedde okuzuuka lwaki Anita Fabiola yalondeddwa Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi okulemberamu kampeyini y’okutumbula ebyobulambuzi mu bitundu by’ebuvanjuba bwa Uganda sabiti eno. Fabiola asobodde okukola omulimu gwe era alambudde ebifo ebyenjawulo okutukiriza obuvunanyizibwa obwamuwereddwa Minisita Kiwanda. Amawulire getufunye galaga nti Fabiola yawereddwa obukadde bwa shs 10 okukola omulimu gwo okumala ennaku 4. Kigambibwa […]
Ebipya byongedde okuzuuka lwaki Anita Fabiola yalondeddwa Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi okulemberamu kampeyini y’okutumbula ebyobulambuzi mu bitundu by’ebuvanjuba bwa Uganda sabiti eno.
Fabiola asobodde okukola omulimu gwe era alambudde ebifo ebyenjawulo okutukiriza obuvunanyizibwa obwamuwereddwa Minisita Kiwanda.
Amawulire getufunye galaga nti Fabiola yawereddwa obukadde bwa shs 10 okukola omulimu gwo okumala ennaku 4.
Kigambibwa Nnalulungi wa Africa, Quiin Abenakyo yabadde ayagala obukadde 20, Minisita Kiwanda nga tazirina era mbu y’emu ku nsonga lwaki asuuliddwa.