Mu nsi yonna, abantu bafuna obutakaanya mu mukwano kyokka okusonyiwagana y’emu ku nsonga lwaki obufumbo buyinza okuwangala. Ku ntandiika y’omwaka 2019, omuyimbi Fille Mutoni yayawukana ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats owa NBS TV era mu kiseera kino buli omu akola bibye. Bangi ku bannansi abaagaliza MC Kats ne Fille okuddamu okwagalana babadde […]
Mu nsi yonna, abantu bafuna obutakaanya mu mukwano kyokka okusonyiwagana y’emu ku nsonga lwaki obufumbo buyinza okuwangala.
Ku ntandiika y’omwaka 2019, omuyimbi Fille Mutoni yayawukana ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats owa NBS TV era mu kiseera kino buli omu akola bibye.

Bangi ku bannansi abaagaliza MC Kats ne Fille okuddamu okwagalana babadde balina essuubi kyokka ebigambo bya Fille bibatabudde.
Fille asobodde okweyambisa oluyimba okuwa ensonga ze lwaki yayawukana ne MC Kats era agamba nti, yamulimba nnyo omuli n’embaga, okumutagula omutima, okumukyanga era tayinza kumuddira.
https://www.instagram.com/p/BtzwApaAZCm/