ALEMEDDEKO! Omuyaaye atabukidde Lydia Jazmine ku nsonga ya laavu, olinda ki okukuba amatooke

©GALAXY

Omuwagizi atabukidde omuyimbi Lydia Jazmine myaka 28 ku ky’okulwawo okufumbirwa. Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulangirira nti anoonya mwagala okulya obulamu ku lunnaku lwa baagalana enkya ku Lwokuna nga 14, Febwali, “Me Looking For My Valentine“. Ku nsonga eyo, bangi ku bagoberezi be ku mukutu gwo, bavuddeyo ku nsonga ezenjawulo omuli okusiima obulungi bwe, […]


Omuwagizi atabukidde omuyimbi Lydia Jazmine myaka 28 ku ky’okulwawo okufumbirwa.

Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulangirira nti anoonya mwagala okulya obulamu ku lunnaku lwa baagalana enkya ku Lwokuna nga 14, Febwali, “Me Looking For My Valentine“.

Ku nsonga eyo, bangi ku bagoberezi be ku mukutu gwo, bavuddeyo ku nsonga ezenjawulo omuli okusiima obulungi bwe, ennyambala ye kyokka abamu omubadde singh dingling  bewunyiza Jazmine okunoonya omusajja mu kiseera kino.

Embeera eyo, basobodde okumubuuza nti, “olindaki olinda bidde“, kyokka akyalemeddwa okubaddamu.

https://www.instagram.com/p/BtyPMJuBPJA/