Omugagga w’omu Uganda Suleiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga myaka 36 aggyiddwa mu kaduukulu mu United Arab Emirates (UAE) mu kibuga Dubai natwalibwa e Denmark okwewozaako ku misango gy’okunyaga ddoola 2,600,000 mu ddiiru y’okuguza abazungu zzaabu. SK Mbuga akulungudde omwaka gumu (1) mu kkomera lya Al Awir mu kibuga Dubai. Okusinzira ku mukutu ogwa […]
Omugagga w’omu Uganda Suleiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga myaka 36 aggyiddwa mu kaduukulu mu United Arab Emirates (UAE) mu kibuga Dubai natwalibwa e Denmark okwewozaako ku misango gy’okunyaga ddoola 2,600,000 mu ddiiru y’okuguza abazungu zzaabu.
SK Mbuga akulungudde omwaka gumu (1) mu kkomera lya Al Awir mu kibuga Dubai.
Okusinzira ku mukutu ogwa ‘Bukedde’, SK Mbuga yayimbuddwa oluvanyuma lw’okusasula obukadde bwa shs 1,600 ezibadde zimubanjibwa omugagga w’omu Buwarabu.
Kigambibwa yatwalibwa mu Lwokuna lwa sabiti ewedde nga 7, Febwali, 2019 era yatuukidde Denmark gye bagenda okumuggya okumutwala mu Sweden okwewozaako.
Abakwasisa amateeka mu ggwanga erya Sweden baasaba eggwanga erya UAE okubasindikira SK Mbuga okutandiika okwewozaako kubigambibwa nti yanyaga ssente obukadde 53 eza Kronor (Ssente za Sweden) mu za Uganda obuwumbi 23.
Kigambibwa mukyala wa SK Mbuya Chebet ye yanyaga ssente ezo okuva ku muganzi we Omuzungu Sten Heinsoo.
Ensonga za SK Mbuga, bakyala be omuli Vivienne Birungi basigadde basobeddwa era bangi bayinza okufuna abasajja abalala kuba ebintu bingi nnyo ebibanja omuli ennyonta y’omukwano.