Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku bigambibwa nti omukyala Rema Namakula yagobye mikwano gye awaka. Kigambibwa Rema yagambye nti amaka galina okuweebwa ekitiibwa era mikwano gya Kenzo girina kukoma ku situdiyo oba kw’offiisi. Rema era agamba nti mikwano gya Kenzo babadde basukkiridde okung’anira awaka nga banoonya Kenzo buli ssaawa, buli lunnaku. Agamba embeera eyo, agikooye era […]
Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku bigambibwa nti omukyala Rema Namakula yagobye mikwano gye awaka.
Kigambibwa Rema yagambye nti amaka galina okuweebwa ekitiibwa era mikwano gya Kenzo girina kukoma ku situdiyo oba kw’offiisi.
Rema era agamba nti mikwano gya Kenzo babadde basukkiridde okung’anira awaka nga banoonya Kenzo buli ssaawa, buli lunnaku.
Agamba embeera eyo, agikooye era awaka ayagalawo famire yokka, Kenzo balina kumusanga ku situdiyo oba kw’offiisi.
Ku nsonga ezo, Kenzo zirabika zimutabudde era agambye nti abantu balina okwesonyiwa ensonga z’amakaage.
Bwe yabadde ku Sanyuka TV mu pulogulamu ‘UNCUT’ Kenzo yagambye nti alina ebifo ebyenjawulo gy’asisinkanira abantu abenjawulo omuli e Munyonyo.
Agamba nti ensonga ze ne Rema za famire era tewali muntu yenna alina kuzinoonyerezaako.