LABA OMUKWANO! Platnumz alaze Tanasha Donna kye bayita laavu, aleese ebintu bya bukadde, Zari asigadde mu maziga

©GALAXY

Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti obulamu bwe, Tanasha Donna Oketch ye mukyala yekka gw’ayagala mu bulamu bwe. Tanasha Donna akola ku laadiyo mu ggwanga erya Kenya era olunnaku olw’eggulo ku lunnaku lwa baagalana, Platnumz yasindise abantu abenjawulo okutwalayo ebirabo bye. Tanasha yabadde mu situdiyo era yalabiddewo nga mikwano gya bba Platnumz gituuse n’ebintu ebyenjawulo omuli […]


Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti obulamu bwe, Tanasha Donna Oketch ye mukyala yekka gw’ayagala mu bulamu bwe.

Tanasha Donna akola ku laadiyo mu ggwanga erya Kenya era olunnaku olw’eggulo ku lunnaku lwa baagalana, Platnumz yasindise abantu abenjawulo okutwalayo ebirabo bye.

Tanasha yabadde mu situdiyo era yalabiddewo nga mikwano gya bba Platnumz gituuse n’ebintu ebyenjawulo omuli ebimuli, ecuupa z’omwenge n’ebintu ebirala.

Olw’embeera eyo, Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instgram okusiima Platnumz okumuwa eky’enjawulo ku lunnaku lwa baagalana era akakasiza nti amwagala nnyo.

Platnumz engeri gy’alaga Tanasha omukwano, kirabika Zari Hassan ali mu maziga kuba takyafuna mukwano gwo gwe yali afuna buli mwaka.

https://www.instagram.com/p/Bt36kBwBasc/