Omuyimbi Diamond Platnumz akakasiza nti tayinza kuding’ana ne Zari Hassan wadde balina abaana babiri (2). Mu 2017, Zari yakozesa olunnaku lwa baagalana okulangirira nti laava ye ne Platnumz yali eweddewo nga kivudde ku nsonga ezenjawulo omuli obwenzi, obuteewa kitiibwa, ssaako obuteesigan’gana. Olunnaku olw’eggulo, Platnumz yasobodde okweyambisa olunnaku lwa baagalana okakasa nti omuwala Tanasha Donna Oketch […]
Omuyimbi Diamond Platnumz akakasiza nti tayinza kuding’ana ne Zari Hassan wadde balina abaana babiri (2).
Mu 2017, Zari yakozesa olunnaku lwa baagalana okulangirira nti laava ye ne Platnumz yali eweddewo nga kivudde ku nsonga ezenjawulo omuli obwenzi, obuteewa kitiibwa, ssaako obuteesigan’gana.
Olunnaku olw’eggulo, Platnumz yasobodde okweyambisa olunnaku lwa baagalana okakasa nti omuwala Tanasha Donna Oketch ye mukyala alina okubeera mu bulamu bwe emyaka gyonna.
Platnumz yabadde yakamala okusindikira Tanasha ebirabo mu ggwanga erya Kenya omwabadde ebimuli, omwenge n’ebintu ebirala, “Coz you are my forever Valentine…..i hope you like my Small Surprise,…. though you far away, but my heart is there for you“.
Ebigambo bya Platnumz, kabonero akalaga nti tayinza kuding’ana ne Zari kuba mu kiseera kino alowooza ku kyana kiwala Tanasha era Zari alina okumwerabira nafuna omusajja omulala.