TERI KUZIKIZA! Kyaddaki MC Kats ayogedde amazima lwaki tayinza kwesonyiwa Fille, abadigize bamutabukidde

©GALAXY

MC Kats omukozi mu NBS TV simwetegefu kwesonyiwa eyali mukyala we era omuyimbi Fille Mutoni ku nsonga z’omukwano. MC Kats ne Fille baayawukana ku ntandikwa y’omwaka gunno ogwa 2019 nga kivudde ku nsonga ezenjawulo omuli obwenzi, obutesigangana, okulimba wakati waabwe. Olunnaku olw’eggulo ku lunnaku lwa baagalana, Fille yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu era yabadde ali […]


MC Kats omukozi mu NBS TV simwetegefu kwesonyiwa eyali mukyala we era omuyimbi Fille Mutoni ku nsonga z’omukwano.

MC Kats ne Fille baayawukana ku ntandikwa y’omwaka gunno ogwa 2019 nga kivudde ku nsonga ezenjawulo omuli obwenzi, obutesigangana, okulimba wakati waabwe.

Olunnaku olw’eggulo ku lunnaku lwa baagalana, Fille yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu era yabadde ali ku siteegi n’oluyimba lwe ‘Love Again’, MC Kats kwekulinya ku siteegi.

Fille ne banne baavudde ku siteegi kuba yabadde amugyeko akazindaalo.
Mu bigambo bye, MC Kats yagambye nti, “Nze oyo omuyimbi natandika talina kyalina“, ekyawadde abantu enseko n’okusakaanya wakati mu kuyimba oluyimba lwa Fille abasajja mwenna mufaanagana.