KITALO! Omuliro mu Kampala, abaana 4 bafudde, ebintu bya bukadde bisanyewo

©GALAXY

Bya Nakaayi Rashidah Abantu 4 bebafudde oluvanyuma lw’omuliro okubookya, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri okumpi ne Kanisa ya Paasita David Kiganda eya Christianity Focus Centre mu Kisenyi ku bibanda bya Kasooli n’emmere y’ebisolo. Omuliro gwasanyizaawo ebintu ebyenjawulo bya Bukadde na Bukadde. Okusinzira ku kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Oweyesigyire abaana 4 bafiiridde […]


Bya Nakaayi Rashidah

Abantu 4 bebafudde oluvanyuma lw’omuliro okubookya, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri okumpi ne Kanisa ya Paasita David Kiganda eya Christianity Focus Centre mu Kisenyi ku bibanda bya Kasooli n’emmere y’ebisolo.

Omuliro gwasanyizaawo ebintu ebyenjawulo bya Bukadde na Bukadde.

Luke Oweyesigyire
Luke Oweyesigyire

Okusinzira ku kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Oweyesigyire abaana 4 bafiiridde mu ddwaaliro gye batwaliddwa nga bali mu mbeera embi.

Oweyesigyire agamba nti ekyavuddeko omuliro tekinamanyika kyokka Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Ku bafudde 4, Poliisi ezuddeko abaana babiri (2) bokka okuli Busuulwa Darin ne Kayuwa William.

Eddoboozi lya Luke