LABA OLUUSO! Fik Fameica avudde ku muddaala, yiino embooko y’omuwala eyewaddeyo okumulambuza obusonda n’okumwerabiza bannabukalu

©GALAXY

Omuyimbi Fik Fameica kyaddaki azzeemu okufuna omuwala gw’ayinza okubojjerera mu kiseera nga Sheila Gashumba yalangiridde nti avudde ku muddaala. Okusinzira ku mawulire getufunye, Fik ennaku zino afukirira DJ Vee. Kigambibwa Fik alabiddwako emirundi mingi n’omuwala DJ Vee era mbu ennaku ezimu basiiba bombi ewa Fik e Munyonyo. Ate buli Ssande, omuwala DJ Vee y’omu ku […]


Omuyimbi Fik Fameica kyaddaki azzeemu okufuna omuwala gw’ayinza okubojjerera mu kiseera nga Sheila Gashumba yalangiridde nti avudde ku muddaala.

Okusinzira ku mawulire getufunye, Fik ennaku zino afukirira DJ Vee.

DJ Vee
DJ Vee

Kigambibwa Fik alabiddwako emirundi mingi n’omuwala DJ Vee era mbu ennaku ezimu basiiba bombi ewa Fik e Munyonyo.

Ate buli Ssande, omuwala DJ Vee y’omu ku bakuba abantu omuziki mu Laparonis era mbu ebiseera ebisiinga abeera ne Fik, ekyongedde okakasa nti baagalana.

Essimu y’omuwala DJ Vee ekubiddwako okutangaaza ku nsonga eyo, takutte kyokka eya Fik tebaddeko wabula tulina okubanoonya.