TOLINA KYOLI! Ebigambo byo biswaza abasoga era olina okwetonda, ensonga za Bobi Wine ziranze, ababaka batabukidde Wandira Kazibwe

©GALAXY

Abamu ku babaka ba Palamenti batabukidde eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga lino Nnalongo Specioza Naigaga Wandira Kazibwe ku nsonga z’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine era bamuwadde amagezi okuvaayo okwetonda. Kinajjukirwa nti ku lunnaku olwa Ssande nga 17, Febwali, 2019, Wandira Kazibwe yatabukira Bobi Wine bwe yali agenze okwetaba […]


Abamu ku babaka ba Palamenti batabukidde eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga lino Nnalongo Specioza Naigaga Wandira Kazibwe ku nsonga z’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine era bamuwadde amagezi okuvaayo okwetonda.

Kinajjukirwa nti ku lunnaku olwa Ssande nga 17, Febwali, 2019, Wandira Kazibwe yatabukira Bobi Wine bwe yali agenze okwetaba mu kuziika eyali Omulabirizi wa Busoga, Bishop Cyprian Kikunyi Bamwoze ku lutiiko e Bugembe mu bitundu bye Jinja.

Wandira Kazibwe yasaba Bobi Wine okuva ku mikolo gy’okuziika Bamwoze kuba yali tayitiddwa, omugenzi abadde tamumanyi, tamannyi by’abadde akola, kyokka abamu ku bakungubazi bakiwakanya.

Olunnaku olw’eggulo ku Palamenti, ababaka okuli ow’e Nakaseke, Paul Lutamaguzi Ssemakula, Kawempe North Latif Sebaggala, Buyaga West Barnabas Tinkasimire n’abalala batabukidde Wandira Kazibwe era bagambye nti ebigambo bye si byabuwangwa eri omuntu yenna agenze okuziika.

Bamuwadde amagezi okwetondera Obwakyabazinga, sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga, eggwanga, Bobi Wine ne bannadiini kuba ebigambo bye bikontana n’obuwangwa ssaako n’okuswaza emyaka gye.

Omubaka Lutamaguzi agambye nti Wandira Kazibwe mu kiseera kino talina kifo kyonna mu Gavumenti era Bobi Wine amusiinga ekitiibwa ekiraga nti alina okwetonda kuba ebigambo bye biswaza Abasoga.