Omubaka we Kyadondo east mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine y’omu ku bakulembeze abaweereddwa obwa Minisita mu Gavumenti ya Dr Kizza Besigye eya ‘People’s Government’ kyokka ye nagaana ekifo ekyamuwereddwa. Ekkiro ekikeseza olunaku, Ssentebe wa Forum for Democratic Change (FDC), Wasswa Biriggwa bw’abadde ku BBS TV, agambye nti mu Gavumenti ya Dr […]
Omubaka we Kyadondo east mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine y’omu ku bakulembeze abaweereddwa obwa Minisita mu Gavumenti ya Dr Kizza Besigye eya ‘People’s Government’ kyokka ye nagaana ekifo ekyamuwereddwa.

Ekkiro ekikeseza olunaku, Ssentebe wa Forum for Democratic Change (FDC), Wasswa Biriggwa bw’abadde ku BBS TV, agambye nti mu Gavumenti ya Dr Besigye, Bobi Wine baamuwadde obwa Minisita ku nsonga z’ebyokwerinda.

Biriggwa agamba nti Bobi Wine yagaanye obuvunanyizibwa bwo era yabategezeza nti alina emirimu emirala gy’alina okukwasaganya.
Mungeri y’emu agambye nti Bobi Wine ne Dr Kizza Besigye tebalina buzibu bwonna era boogera ng’abakulembeze ku bigenda mu maaso mu ggwanga n’engeri gye bayinza okukyusa obuyinza mu ggwanga.
Ku nsonga eyo, bangi ku bantu bagambye nti Bobi Wine yagaanye obwa Minisita mu Gavumenti ya Dr Kizza Besigye okusobola okwetekateeka obulungi okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kulonda kwa 2021.
Yiino Kabinenti ya Dr Kizza Besigye mu ‘People’s Government’.
RESIDENT: Dr Kizza Besigye
Deputy President: Erias Lukwago
Prime Minister: Proscovia Salaamu Musumba
Deputy Prime Minister: Ibrahim Semuju Nganda
PRESIDENTIAL COUNCIL OF STATE
- AMB. WASSWA BIRIGWA
- JOHN KEN LUKYAMUZI
- PATRICK OBOI AMURIAT
- BETTY AOL OCHAN
- CHAPAA KARUHANGA
Speaker: Oudman Okello
Deputy Speaker: Nabantazi Cissy Ssempa
MINISTERS
- Presidency
Wafula Oguttu
State: Francis Mwijukye
- Foreign Affairs
Atkins Katushabe
State: Paul Mutawe
- Finance
Nathan Nandala Mafabi
State: Wilberforce Kyambande
- Internal Affairs
Ingrid Turinawe
State: Mubarak Munyagwa
- Local Government
Joyce Sebugwawo Naboosa
State: Harold Kaija
- Trade, Industry & Cooperatives
Moses Kasibante
State: Roland Kaginda Mugume
- Defence and Security
Jack Sabiti
State: Hassan Kaps Fungaroo
- Energy & Mineral Resources
Harold Tony Muhindo
- Works and Transport
William Nzoghu
State: Plan Virginia Mugyenyi
- Education, Science & Technology
Margret Wokuli Madanda
State: Akello Franca
- Agriculture, Animal Industry & Fisheries
Phillip P. Okin
- Labor, Gender & Social Development
Kevina Taaka
State: Lucy Aciro
- Health
Ekwaro Okello
State: Dominic Wakabi
- Youth and Sports
Paga Gloria
State: Allan Ssewanyana
- Information & KCCA
Betty Nambooze
State: Okello Keneddy
- Water & Environment
Vincent Kyamadidi
State: Ann Adeke
- Tourism & Wildlife
Gilbert Olanya
State: Nyanjura Doreen
- Public Service
Jack wamanga Wamai
State: Jonathan Odour
- Planning & Economic Development
Geofrey Ekanya
State: Micheal kabaziguruka
- Justice, Constitutional & Attorney General
Yusuf Nsibambi
State: Moses Tugume.