Abadigize batadde Rema Namakula ku nninga okunyonyola omuntu gwe yali ayimbako mu luyimba lwe ‘Touch My Body’. Rema bwe yabadde ku siteegi mu kifo ekimu ekisanyukirwamu, ebigambo ebiri mu luyimba byatabudde abadigize era bangi obwedda bawogana Kenzo, Kenzo, Kenzo. Ebimu ku bigambo ebyawadde abantu essanyu mwe muli, “Luli olunnaku lwe nakulaba, simanyi oba nakukuba lwa […]
Abadigize batadde Rema Namakula ku nninga okunyonyola omuntu gwe yali ayimbako mu luyimba lwe ‘Touch My Body’.
Rema bwe yabadde ku siteegi mu kifo ekimu ekisanyukirwamu, ebigambo ebiri mu luyimba byatabudde abadigize era bangi obwedda bawogana Kenzo, Kenzo, Kenzo.
Ebimu ku bigambo ebyawadde abantu essanyu mwe muli, “Luli olunnaku lwe nakulaba, simanyi oba nakukuba lwa maaso oba kino ekiwato kya namuziga, amazima sikyajjukira kyakkuba, simanyi oba wanywa muzinga gwa amarula oba guno muzinga gwa Vodka“.
Ebigambo ebyo, bangi ku badigize basabye Rema okuddamu okwebuuza ku bba Kenzo kuba alina ensonga lwaki yamukuba amatooke.
Mu kiseera kino, Rema ne Kenzo balina omwana omu wadde Kenzo alina abaana abalala.