ANTI LAAVU! Bubuno obukodyo obuyamba buli mukyala yenna okusumulula taapu mu vuvuzera n’omusajja okuwomerwa ekipooli

©GALAXY

Abakyala abangi balina obuzibu, tebalina mazzi ga kyama era y’emu ku nsonga lwaki bangi tebagala kwegatta olw’obulumi. Wabula Ssenga Kawomera agamba nti ebintu bingi nnyo ebiyinza okuvaako omukyala okubulwa amazzi omuli okubulwa ekirungo kya “oestrogen” mu mubiri, ekivunanyizibwa ku busimu obuzaala amazzi. Ssenga Kawomera era agambye nti singa abakyala bajjumbira okulya emmere yonna erimu ekiriisa […]


Abakyala abangi balina obuzibu, tebalina mazzi ga kyama era y’emu ku nsonga lwaki bangi tebagala kwegatta olw’obulumi.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti ebintu bingi nnyo ebiyinza okuvaako omukyala okubulwa amazzi omuli okubulwa ekirungo kya “oestrogen” mu mubiri, ekivunanyizibwa ku busimu obuzaala amazzi.

Ssenga Kawomera era agambye nti singa abakyala bajjumbira okulya emmere yonna erimu ekiriisa kya vitamini E, eba nnungi kuba eyamba okwongera ku busimu bwa ‘Oestrogen’.

Emmere omuli ebyennyanja, amagi naddala enjuba yaago, ennyama n’enkoko, biyamba nnyo omukyala okufuna amazzi g’ekikyala.

Ebinyeebwa, ebijanjaalo, soya n’entungo nabyo birimu ekiriisa ekya vitamini E ekiyamba mu kuzimba obusimu obwo obwongera amazzi mu mubiri.

Ebibala birimu ekiriisa kya vitamini C nakyo ekyetaagisa ennyo mu kukola obusimu bw’embeera z’ekikyala ate nga biyamba okwongera amazzi mu mubiri n’okwongera ku bungi bw’amazzi omukyala g’anywa buli lunnaku.

Omukyala yenna olina okukendeeza okweraliikirira kuba obwongo bwe bufuga byonna ebikolebwa omubiri omuli n’okwegatta.

Mu kiseera ky’okwegata, olina okusaba omusajja okuweweeta obulungi okusobola okusumula taapu zonna ezivaamu amazzi.