BAGAMBEKO! Marcus ayogedde ebyama wakati we ne Sheila Gashumba, atabukidde bannayuganda okubesonyiwa

©GALAXY

Kyaddaki omusajja Marcus Lwanga ayogedde ku mukwano gwe ne Sheila Gashumba muwala wa Frank Gashumba owa sisimuka Uganda. Okuva omwezi oguwedde ogwa Janwali, Sheila Gashumba ne Marcus babadde mu mukwano omuyitirivu nga ensonga zabwe bazitambuliza ku mitimbagano gya yintanenti. Sabiti ewedde, Sheila Gashumba yakozeseza omukutu ogwa Instagram okulabula abantu okubesonyiwa kuba yagenda okwagala Marcus ng’akimanyi […]


Kyaddaki omusajja Marcus Lwanga ayogedde ku mukwano gwe ne Sheila Gashumba muwala wa Frank Gashumba owa sisimuka Uganda.

Okuva omwezi oguwedde ogwa Janwali, Sheila Gashumba ne Marcus babadde mu mukwano omuyitirivu nga ensonga zabwe bazitambuliza ku mitimbagano gya yintanenti.

Sabiti ewedde, Sheila Gashumba yakozeseza omukutu ogwa Instagram okulabula abantu okubesonyiwa kuba yagenda okwagala Marcus ng’akimanyi bulungi nti alina omukyala n’abaana.

Wabula ne Marcus avuddeyo ku nsonga y’omukwano gwaabwe eri abantu abogera ebigambo okusobola okubaawula.

Marcus agamba nti Sheila Gashumba yali akimanyi nti alina ssente kyokka yamukwanira emyezi esatu (3) okusobola okuwangula omutima gwe.

Mungeri y’emu agambye nti abantu balina eddembe okwogera ebigambo kyokka tewali muntu yenna ayinza kubawula.