Poliisi mu disitulikiti y’e Kabarole ekutte ssemaka Francisco Kasoro atemera mu gy’obukulu 75 ku by’okusobya ku mwana atanetuuka myaka 12. Kasoro asangiddwa omu ku batuuze ku mwana omuto ng’amukozesa mu makaage ku kyalo Karambi A era mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi y’e Karambi. Okusinzira kw’akulira Poliisi y’e Karambi, Patrick Bahemuka, Kasoro asimatuuse okuttibwa abatuuze […]
Poliisi mu disitulikiti y’e Kabarole ekutte ssemaka Francisco Kasoro atemera mu gy’obukulu 75 ku by’okusobya ku mwana atanetuuka myaka 12.
Kasoro asangiddwa omu ku batuuze ku mwana omuto ng’amukozesa mu makaage ku kyalo Karambi A era mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi y’e Karambi.
Okusinzira kw’akulira Poliisi y’e Karambi, Patrick Bahemuka, Kasoro asimatuuse okuttibwa abatuuze olw’abasirikale okutuuka mu budde, okumuggya ku kyalo olw’abatuuze okung’aana okwagala okumutta.
Kasoro akirizza omusango gw’okujjula ebitanajja era agambye nti omwana abadde amusobezaako emirundi ebiri (2) gyokka ng’olunnaku olwaleero, gubadde gwakusatu.
Omusirikale Bahemuka agambye nti Kasoro bagenda kumusindika mu kaduukulu ka poliisi Fort Portal ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Eddoboozi lya Bahemuka
Ekifaananyi ekiri ku sitoole eyo, omusajja yakwattibwa mu 2015 ku misango gy’okusobya ku mwana era okuggyayo amakulu ga sitoole y’olunnaku olwaleero, tubadde tulina okukyeyambisa.