Kyaddaki omuyimbi wa Afro-pop mu bandi ya Sautisol mu ggwanga erya Kenya Bien Amie alaze ensi omukyala ali mu birowoozo bye. Olunnaku olw’eggulo, Bien Amie yasabye muganzi we Chiki Kuruka obufumbo mu butongole era bangi ku bannansi bawuniinkiridde nga balabye ebifaananyi ku mitimbagano egitali gimu n’emikutu gy’amawulire. Mu ggwanga erya Kenya, Bien Amie ne banne […]
Kyaddaki omuyimbi wa Afro-pop mu bandi ya Sautisol mu ggwanga erya Kenya Bien Amie alaze ensi omukyala ali mu birowoozo bye.
Olunnaku olw’eggulo, Bien Amie yasabye muganzi we Chiki Kuruka obufumbo mu butongole era bangi ku bannansi bawuniinkiridde nga balabye ebifaananyi ku mitimbagano egitali gimu n’emikutu gy’amawulire.
Mu ggwanga erya Kenya, Bien Amie ne banne bogerwako nnyo olw’ennyimba zaabwe omuli You Said, Monique, n’endala.
Mu kiseera kino, abasajja bonna ababadde bafukirira omuwala Chiki Kuruka balina okumwesonyiwa kuba afunye omusajja omutongole alina obuvunanyizibwa okumukuba amatooke.